(intro)
Laaa, Waguan, laaa, yeah, eeeh
(verse)
Wano emirembe gyaliwoWano emirembe gyaliwo gwe jangu nkubuulireWano akamwanyi kaaliwoWano akamwanyi kaaliwo nga tumanyi okukalimaNe ka moringa kaaliwoNe ka vanilla kaaliwo nga ne ka pamba tulimaBano abasajja wajjawoBano abasajja bajjawo era byonna okubizisaAte gwe olubagambakoAte gwe olubagambako nti obwo obuyaaye bwakubwaBuli kimu bakimanyiEbitunyiga babimanyi baasalawo okusirikaOh gwe olubagambakoEh gwe olubagambako ng'empingo zirumaWano enguudo ezaaliwoWano enguudo ezaaliwo laba zonna okubomokaBuli omu ali ku lulweBategeka bugagga bwabwe abasajja baatutaEmiranga egiriwoEmiranga egiriwo bano abasajja bakyunyaTwagala batulekeTwagala bagende kati plan tusalaBanange batuli bubiBanange batuli bubi teri alina mirembeN'akatono k'olinaN'akatono k'olina bali ready okukakomyaN'obulamu bw'olinaN'obulamu bw'olina tebeeguya era balumwaN'embwa zaabwe zoogeraN'embwa zaabwe baaziwa emirimu era mbu zikolaOlaba amasomeroAmasomero mwalimu education naye yafaByonna ne babizisaByonna ne babizisa ffenna nga tulabaBuli kimu bakimazeBuli kimu bakimazeewo eggwanga lizika
(chorus)
Ekimala kimala (mutuleke)Kimala (tusaba mutuleke)Bye mubbye bimala (mutuleke)Bimala (tusaba mutuleke)Tuli mu miranga (mutuleke)Wulira emiranga (tusaba mutuleke)Mwatulimba (mutuleke)Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)
Bakulu bannamwe baatuwarningaBaatugamba nti abo abasajja beekyangaBannamwe baatuwarningaNti akaseera kalituuka abo abasajja okwekyangaEra akaseera maama kaatuukaBuli kyaliwo maama kyakyukaEmirembe egyaliwo gwe gyakyukaKati buli wamu emmundu zeesoozaN'olaba abakulu bwe bakaabaN'olaba abavubuka, abato bwe bagakaabaKa sukaali n'okakaabaAkava, akamere nako n'okakaaba katiBuli kimu ne tukikaabaNga be tukaabira bali mu kukola bubagaEmirimu ne bagiwambaOkula n'obuuza ŋŋenda kukola ki?Amateeka baagakyusaAmateeka batwalira na mu ngalo katiBano abasajja tubakooyeNjagala mufungize era tubagobe kati
(Outro)
Maama n'akaaba (mutuleke)Nga ne taata akaaba (tusaba mutuleke)Jajja n'akaaba (mutuleke)Nga ne neighbour akaaba (tusaba mutuleke)Owa boda n'akaaba (mutuleke)Nga n'omusuubuzi akaaba (tusaba mutuleke)Buli omu n'akaaba (mutuleke)Temulina kisa alaali (tusaba mutuleke)Ekimala kimala
Copyright @ King's Love Entertainment