(intro)
Emirembe ngalo (Emirembe ngalo)Emirembe ngalo oohEmirembe ngalo (Emirembe ngalo)
(verse)
Osangako ku ndabirwamu yoN'olamusaako ku b'ekyalo kyoAbakuyinula mu kibugaBalisima entaana yo nga tebali nayoSente mugenyi bugenyi leero ziri wuwoEnkya ziri wa neighbour woTezikuleeta kufunya bweenyi, ebyo bipapulaLwaki otemula muno?Zikolwa mulamu tewemalaamuGwe akyaali omuto kanya kalamuAbantu basula bubi olaba ma farmNga naye agazibu gabazimbako enjuAbazirina bangiBazirekawo nebazikwa nga ababbi, ohhhEno ensi ekyuuka langiAbalalu kunguudo baaliko mu masuuti
(chorus)
Siyeggwe asingaEzo sente zikulimba (Emirembe ngalo)Abantu balina ebyaama lwakusirikaBalabye ebinene wamma (Emirembe ngalo)Siyeggwe asooseObwo obuyinza bukulimba (Emirembe ngalo)Abantu balina ebyaama lwakusirikaBalabye ebinene wamma (Emirembe ngalo)
Amalala n'ettima bikakanyeekoEnsi ogigende mpola tezanyirwakoOlaba nebwonaaba enyotta obulwaako wanoGundi asuza bikutiya, ye tafuna tuloBy'olimu siyeggwe asoose mukwanoDuniya mayengo tuli mu lyaatoLeero bwebitereera enkya tuli mu mwootoBwofuna toduula ensi ekuba kibookoBwonsookayo kanyuga ku kaguwaBasikeko tobaleka kunafuwaKyotamaleewo gabira ku balalaToyinza kukkuta ensi tetumalaMunywanyi weyise bulungiObulamu buzibu enkya bukyuuka langi, eeh
Siyeggwe asingaObwa celeb bukulimba (Emirembe ngalo)Abantu bangi bayimbaba Philly Lutaaya, Ssebaduka, Kafeero (Emirembe ngalo)Siyeggwe asooseN'abalala bakyajja (Emirembe ngalo)Maradona olwavaawo Ronaldinho najjaMajid Musisi bakyaaka (Emirembe ngalo)
Abazirina bangiBazirekawo nebazikwa nga ababbi, ohhhEno ensi ekyuuka langiAbalalu kunguudo baaliko mu masuutiZikolwa mulamu tewemalaamuGwe akyaali omuto kanya kalamuAbantu basula bubi olaba ma farmNga naye agazibu gabazimbako enjuBwonsookayo kanyuga ku kaguwaBasikeko tobaleka kunafuwaKyotamaleewo gabira ku balalaToyinza kukkuta ensi tetumala
Siyeggwe asingaAko akabina kakulimba (Emirembe ngalo)Abantu balina ebintu lwakusirikaBalina ebinene wamma (Emirembe ngalo)Siyeggwe asoose, ehAgo amafigure gakulimba (Emirembe ngalo)Oyo omukadde gw'olaba mapengoYaliko ndibaasa lumu (Emirembe ngalo)
(outro)
Tokuba bantu nfuufuOlw'okuba mukwano wagula akamotoko (Emirembe ngalo)Obwo obuyinza bwokozesaN'amanyi gokozesa n'oduula nokamala (Emirembe ngalo)Eyo emeeza kwotuddeGikozese bulungi obuyinza bugwawo (Emirembe ngalo)Munange munange munange munange kakkana (Emirembe ngalo)
Copyright @ Mesach Semakula