(intro)
Beerimbise mu mateeka tebali ku mateekaEbintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka
(chorus)
Tubikooye (tubikooye)Obulumi tubukooye (aah tubikooye)Tubikooye (tubikooye)Enkola yamwe tugikooye (aah tubikooye)Bano batemu butemu (tubikooye)Aah tubikooye (aah tubikooye)Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)Aah tubikooye (aah tubikooye)
(verse)
Kyatandika ddiBannansi okutulugunyizibwa mu nsi yaabweKyatandika ddiBannansi okutugumbulwanga mu nsi yaabwe (ffe tubikooye)Omwana w’eggwangaAsomedde na mu bugubi naye era takola (ooh)Okwagala eggwangaTwakula nga y’ennono naye mwe mulitutamyaKati tufuuse ba kadaama lwa mbeeraAbaana ba Uganda lwaki mubatunda?Amazima olugoogerako nga bakupangaOlugalemerako nga bakunyoola
Tubikooye (tubikooye)Obulumi tubukooye (aaah tubikooye)Tubikooye (tubikooye)Enkola yamwe tugikooye (aaah tubikooye)Bano batemu butemu (tubikooye)Aah tubikooye (aaah tubikooye)Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)Aah tubikooye (aaah tubikooye)
Mbuuza, mbuuza bubuuza siyombaLwaki emirimu kati giri mu ba mu nyumba?Omunyankole, Omusoga n’OmugandaOkuva edda n’edda tuli baalugandaNaye kati otunula n’opimapimaNg’abamu bbo babasosolaFuture y’omwana gwe nina ewakaSigiraba, sigirengeraYii, ebirungi byandibaddewo ne bikolwaNga banansi mubateerawo bye bakola
Eno ensi yafuuse y’abanene bokkaOmutono waakufaNga tolina ssente omusango tosingaKuluno omwavu waakufaBwe ntunuulira abakadde baffe abeeyiiya maamaKa poloti baakanyaga maamaNga ne w’akolera baamugoba maamaLaba amaziga g’akaaba maamaOmuntu eyandibadde akwasisa amateekaAgamenya n’akunyigira mu mateeka
(outro)
Tubikooye, beerimbise mu mateeka tebali ku mateekaTubikooye, ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka, yiiTubikooye, beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka (omwana w’eggwanga)Tubikooye, ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka (okwagala eggwanga)Tubikooye, twakula nga y’ennono naye mwe mulitutamyaBanaj, tubikooye
Copyright @ Big Music Entertainment