(intro)
Beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka
Ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka
(chorus)
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yamwe tugikooye (aah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
(verse)
Kyatandika ddi
Bannansi okutulugunyizibwa mu nsi yaabwe
Kyatandika ddi
Bannansi okutugumbulwanga mu nsi yaabwe (ffe tubikooye)
Omwana w’eggwanga
Asomedde na mu bugubi naye era takola (ooh)
Okwagala eggwanga
Twakula nga y’ennono naye mwe mulitutamya
Kati tufuuse ba kadaama lwa mbeera
Abaana ba Uganda lwaki mubatunda?
Amazima olugoogerako nga bakupanga
Olugalemerako nga bakunyoola
(chorus)
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aaah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yamwe tugikooye (aaah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aaah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aaah tubikooye)
(verse)
Mbuuza, mbuuza bubuuza siyomba
Lwaki emirimu kati giri mu ba mu nyumba?
Omunyankole, Omusoga n’Omuganda
Okuva edda n’edda tuli baaluganda
Naye kati otunula n’opimapima
Ng’abamu bbo babasosola
Future y’omwana gwe nina ewaka
Sigiraba, sigirengera
Yii, ebirungi byandibaddewo ne bikolwa
Nga banansi mubateerawo bye bakola
(chorus)
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aaah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yamwe tugikooye (aaah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aaah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aaah tubikooye)
(verse)
Eno ensi yafuuse y’abanene bokka
Omutono waakufa
Nga tolina ssente omusango tosinga
Kuluno omwavu waakufa
Bwe ntunuulira abakadde baffe abeeyiiya maama
Ka poloti baakanyaga maama
Nga ne w’akolera baamugoba maama
Laba amaziga g’akaaba maama
Omuntu eyandibadde akwasisa amateeka
Agamenya n’akunyigira mu mateeka
(outro)
Tubikooye, beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka
Tubikooye, ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka, yii
Tubikooye, beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka (omwana w’eggwanga)
Tubikooye, ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka (okwagala eggwanga)
Tubikooye, twakula nga y’ennono naye mwe mulitutamya
Banaj, tubikooye