(intro)
Waguan
(verse 1)
Yeah eehKaali kaseera ka sala wano ng'ensi bagigabana nti gundi sala wanoUganda baagigabana dda ne beegabira ebitundu byonna ebya kunoNe bagigabana nga bakimanyi mulimu abantu baffe maama aba kunoEkyo ekikolwa kibi nyoKi tugabanye nga mangada?Kikolwa kibi nyoMulinga abatali ba kunoMuli bantu babi nyoNaye katubayiiye guno omulundi teri kwebaka, ahTubiraba byonna bye mukolaNe plan zamwe zonna ze mukolaKu luno teri kwebaka
(chorus)
Bannange tuwage (tuwage)Nze mbasaba kimu tuwage (tuwage)Yonna gye muli muwage (tuwage)Akaseera ke kano oh (tuwage)Bannange tuwage (tuwage)Amaanyi mulage (tuwage)Ekibuga kinyume (tuwage)Mbasaba omwoto mukume (tuwage)
(verse 2)
Nze nkimanyi bagenda kakasaYadde nga beebuzaabuzaBuli kye baasangawo eno bakidibaga okukamalaAte nga beebuzaabuzaBuli kye bakwatako eno bakivuluga okukamalaOlumala nga beebuzaabuzaBaatusuubiza eddagala n'ebyokupakasaByonna nga babuzaabuzaOkusoma, okusoma nakwo era baatusuubizaOlumala nga beebuzaabuzaOlaba ne Kabaka waffe, mtschewNaye ebyo kambirekeMbasaba kimu tufungizeGuno omulundi teri bya kwebaka (teri bya kwebakka), yeah
(bridge)
Aaah aah aahNaye namwe aaah aah aahEbbanga liyise aaah aah aahEmyaka ataano hapanaMubeeko kye mukola aaah aah aahAbaana balaba aaah aah aahBalitunenya nti hapanaTwaleka ebanga ne liyitaMubeeko kye mukola aaah aah aahYooo, yeaaahUuu laaa, yeah yeah
Okuva ku meefuga maama tulumwaTulumwa era ne tulumwaOluyimba lw'egwanga lwa luzungu kirumaKiruma maama kirumaTeri atufaako maama kirumaBuli gwe tuwa y'atulyamu era kirumaEgwanga baalitunda na dda era kirumaKiruma, nkugambye kirumaEkitiibwa kya Uganda kyonna maama kyava dda, ddaNaye maama kyafa ddaNe be twesiga era baavundaEbikolwa byabwe maama byakyuka
(outro)
Banange tuwage (tuwage)Yonna gy'oli muwage (tuwage)Ŋŋamba abalimi tuwage (tuwage)N'abavubi muwage (tuwage)Ab'akatale muwage (tuwage)Abasuubuzi muwage (tuwage)Ab'engulu muwage (tuwage)N'abemanga muwage (tuwage)Abo munda muwage (tuwage)Uganda yonna tuwage (tuwage)Ooh maama tuwage (tuwage)Obudde buyise (tuwage)Banange mwenyweze (tuwage)
Copyright @ King's Love Entertainment