(intro)
Waguan
(verse 1)
Yeah eeh
Kaali kaseera ka sala wano ng’ensi bagigabana nti gundi sala wano
Uganda baagigabana dda ne beegabira ebitundu byonna ebya kuno
Ne bagigabana nga bakimanyi mulimu abantu baffe maama aba kuno
Ekyo ekikolwa kibi nyo
Ki tugabanye nga mangada?
Kikolwa kibi nyo
Mulinga abatali ba kuno
Muli bantu babi nyo
Naye katubayiiye guno omulundi teri kwebaka, ah
Tubiraba byonna bye mukola
Ne plan zamwe zonna ze mukola
Ku luno teri kwebaka
(chorus)
Bannange tuwage (tuwage)
Nze mbasaba kimu tuwage (tuwage)
Yonna gye muli muwage (tuwage)
Akaseera ke kano oh (tuwage)
Bannange tuwage (tuwage)
Amaanyi mulage (tuwage)
Ekibuga kinyume (tuwage)
Mbasaba omwoto mukume (tuwage)
(verse 2)
Nze nkimanyi bagenda kakasa
Yadde nga beebuzaabuza
Buli kye baasangawo eno bakidibaga okukamala
Ate nga beebuzaabuza
Buli kye bakwatako eno bakivuluga okukamala
Olumala nga beebuzaabuza
Baatusuubiza eddagala n’ebyokupakasa
Byonna nga babuzaabuza
Okusoma, okusoma nakwo era baatusuubiza
Olumala nga beebuzaabuza
Olaba ne Kabaka waffe, mtschew
Naye ebyo kambireke
Mbasaba kimu tufungize
Guno omulundi teri bya kwebaka (teri bya kwebakka), yeah
(chorus)
Bannange tuwage (tuwage)
Nze mbasaba kimu tuwage (tuwage)
Yonna gye muli muwage (tuwage)
Akaseera ke kano oh (tuwage)
Bannange tuwage (tuwage)
Amaanyi mulage (tuwage)
Ekibuga kinyume (tuwage)
Mbasaba omwoto mukume (tuwage)
(bridge)
Aaah aah aah
Naye namwe aaah aah aah
Ebbanga liyise aaah aah aah
Emyaka ataano hapana
Mubeeko kye mukola aaah aah aah
Abaana balaba aaah aah aah
Balitunenya nti hapana
Twaleka ebanga ne liyita
Mubeeko kye mukola aaah aah aah
Yooo, yeaaah
Uuu laaa, yeah yeah
(verse 2)
Okuva ku meefuga maama tulumwa
Tulumwa era ne tulumwa
Oluyimba lw’egwanga lwa luzungu kiruma
Kiruma maama kiruma
Teri atufaako maama kiruma
Buli gwe tuwa y’atulyamu era kiruma
Egwanga baalitunda na dda era kiruma
Kiruma, nkugambye kiruma
Ekitiibwa kya Uganda kyonna maama kyava dda, dda
Naye maama kyafa dda
Ne be twesiga era baavunda
Ebikolwa byabwe maama byakyuka
(outro)
Banange tuwage (tuwage)
Yonna gy’oli muwage (tuwage)
Ŋŋamba abalimi tuwage (tuwage)
N’abavubi muwage (tuwage)
Ab’akatale muwage (tuwage)
Abasuubuzi muwage (tuwage)
Ab’engulu muwage (tuwage)
N’abemanga muwage (tuwage)
Abo munda muwage (tuwage)
Uganda yonna tuwage (tuwage)
Ooh maama tuwage (tuwage)
Obudde buyise (tuwage)
Banange mwenyweze (tuwage)